Abasirikale ba police ya Uganda 4 bagobeddwa ku mulimu, bagende bakole ebirala,oluvannyuma lw'okwekobaana nebanyaga ensimbi ku bagwira. Abagobeddwa kuliko Among Fiona owe Kabalagala, Angula Isaak, Ngalenda Bernard ne Baluku Shafic...
Emirambo gy'abaana ebiri gizuuliddwa nga gifuuse bisiriiza, mu muliro ogukutte ennyumba ku kyalo Mutaayi mu gombolola ye Buwenge mu district ye Jinja. Omuliro guno gukutte ku ssaawa nga 6 ez'ekiro....
Abakristu ba St Yoanna Maria Muzeeyi Nabweru Bwaise Parish basiimye abakirizza ababadde ab'enkizo mu Eklezia yaabwe. Bakulembeddwa Bbaale Jackson Ssabakirisitu w'akabondo ka St Bruno. Bbaale asabye abakirisitu mu ggwanga bettanire...
Olukungaana lw'amawanga ga nnampawengwa olwa NAM ( Non Aligned Movement) olw'omulundi ogwe 19 lukomekkerezeddwa oluvannyuma lw'ennaku 6 zerumaze nga luyindira ku Speke hotel e Munyonyo mu Kampala Uganda. President wa...
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje kéggaali yÓmukka e Kyetume Mukono mu ssaza Kyaggwe, ku ssaawa nga ssatu ez'ekiro. Akabenje kano kagudde ku kitundu kye Namumira awasalira eggaali yÓmukka. Kigambibwa...
Super supreme mufti wa Uganda shiek Shabaan Galabuzi asiimye abakulembeze ku ludda lw'ebyobufuzi mu district ye Wakiso okussaawo enkola ey'okutambulira awamu n'abantu abalala ku buweereza obwenjawulo. Sheik Shabaan Galabuzi asinziridde...
President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa agguddewo olukungaana lw'abakulembeze b'amawanga ga Nnampawengwa olwa NAM (Non Alligned Movement). Olukungaana luno olw'omulundi ogwe 19 luyindira mu Speke Resort Munyonyo mu...
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Matale mu gombolola ya Buikwe Rural bwe basanze omusomesa w'esomero lya St Peters Matale Church of Uganda Primary School nga yafiira mu nnyumba. Omusomesa abadde...
Abantu basatu batiddwa mu bukambwe ku kyalo Kibutika mu Ndejje Lufuka mu gombolola ya Makindye Ssaabagabo, kigambibwa nti babadde banyagulula edduuka lya mobile Money . Okusinziira ku alipoota ya police,...