Abantu 4 bafiiridde mu kabenje kéggaali yÓmukka e Kyetume Mukono mu ssaza Kyaggwe, ku ssaawa nga ssatu ez’ekiro.
Akabenje kano kagudde ku kitundu kye Namumira awasalira eggaali yÓmukka.
Kigambibwa abana bano babadde ku pikipiki ebadde ku misinde emingi, bwebatuuse eggaali wesalira pikipiki negaana okusiba kwetuyiingirira eggaali yÓmukka neebakulula.
Pikipiki abana bano kwebafiiridde ebadde Bajaj Boxer namba UFT 498/K.
Police emirambo egiggyewo n’egitwala mu ggwanika.#