Abantu basatu batiddwa mu bukambwe ku kyalo Kibutika mu Ndejje Lufuka mu gombolola ya Makindye Ssaabagabo, kigambibwa nti babadde banyagulula edduuka lya mobile Money .
Okusinziira ku alipoota ya police, ababbi bano balumbye emmotoka etaambuza eby’amaguzi eya Shana Distributors Ltd, Kikuubo,nebatandika okukanda ababaddemu ensimbi okubadde ddereeva Galabuzi Haruna, Babirye Patricia ne Mfitumukiza Henry.
Bwebagaanye okubawa ensimbi ababbi nebakuba Patricia essasi mu kigere, nebamuggyako ensimbi eziteeberezebwa okubeera mu bukadde bwa shs 20.
Ababbi babuukidde pikipiki yabwe No. UES 820K badduke,wabula abatuuze oluwulidde enduulu nebabasimbako era nebabakwata nebabakuba emiggo egibaviiriddeko okufa.
Police ye Namasuba wetuukidde esanze 2 bafiiriddewo Bakka Mark ne Ssemanda Brain, ate omulala gwesanze ekyalimu akalamu afudde yakatuusibwa mu ddwaliro e Mulago gy’abadde addusiddwa.
Police ezudde emmundu gyebabadde babbisa, ate bbwo obukadde bwa shs 20 obuteeberezebwa okuba nga bwebabadde babbye bubulidde mu kavuvungano akabaddewo.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif