Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olumaze ennaku bbiri mu Butikkiro e Mengo, nga lwekeneenya enteekateeka ya Nnamutaayiika okunaatambulizibwa emirimu eye myaka etaano egijja 2023-2028 lukomekkerezeddwa. Mu nteekateeka eno muteereddwamu emiramwa, ebiruubirirwa...
Alipoota ekoleddwa ku nteekateeka y'Obwakabaka Namutayiika ey'emyaka etaano anatra okugwako eraze nti Namutayiika ono atuukiriziddwa ebitundu 98%, ekyongera essuubi eryókuzza Buganda ku ntikko. Namutaayiika ono yatandika mu mwaka gwa 2018...
Bazzukulu ba Lwomwa abeddira Endiga basitukidde mu Ngabo y’ebika by’Abaganda ey’Omupiira gw’ebigere 2022, bakubye bazzukulu ba Ndugwa abeddira Olugave goolo 1-0, ku mupiira ogubaddeko n’Obugombe ku kisaawe e Wankulukuku. Goolo...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obubaka bwe abutisse Omulangira Kintu Wasajja,abusomedde ku mukolo gw’okuziika John Naggenda e Bwotansimbi mu Buloba mu district ye Wakiso Ssaabasajja ayogedde ku Naggenda ng’omuntu...
Abakulembeze b’ekibiina kya Nkobazambogo ku mutendera gwa secondary ne university balayiziddwa okukuuma ebyama by’Obwakabaka n’okutumbula obuwangwa mu bavubuka ba Buganda. Abalayiziddwa kuliko Nalujja Rachel, Nakalo Martha, Kasule Owen, Kakeeto...