Alipoota ekoleddwa ku nteekateeka y’Obwakabaka Namutayiika ey’emyaka etaano anatra okugwako eraze nti Namutayiika ono atuukiriziddwa ebitundu 98%, ekyongera essuubi eryókuzza Buganda ku ntikko.
Namutaayiika ono yatandika mu mwaka gwa 2018 agwakomuJune wa 2023.
Ebiruubirirwa ebyalambikibwa kyasooka kubeera 15 nebyongerwako 10 nebiwera 25.
Okubagibwa kwa Namutaayiika ono yesigamizibwa ku nsonga ssemasonga ettaano ezóbwakabaka.
Mu ssemasonga asooka omuli okunyweeza n’Okutaasa Namulondo, alipoota eraze nti Ssaabasajja Kabaka ayongedde okuyitimuka , Enkuluze eyongedde okufuna amaanyi, Obwakabaka bwafuna emmotoka ya Ssekabaka Muteesa Rolls Royce, Abataka okuweebwa entambula y’emmotoka, n’ensonga endala nyingi zituukiddwako.
Mu ssemasonga eyookubiri omuli enfuga eya Federal ey’ebikolwa, Obwakabaka bwafuna ekitongole ky’Amateeka ki Buganda Royal Law chamber, Abaami b’Amasaza n’Amagombolola baafuna mmotoka ne pikipiki okuwewula emirimu, n’ebirala bingi ebyatukibwako.
Mu Ssemasonga owookusatu ow’okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda, alipoota eraze nti amasaza ga Beene gonna galambuddwa era ettaka eririmu lirondoolwa.
Mu ssemasonga owokuna omuli okukola ennyo n’Okwekulakulanya Obwakabaka bwa Buganda bwayongedde okugula emigabo mu Radio CBS , ebibiina by’Obwegassi mu Bwakabaka bitambula kinawadda, empaka za bannalulungi bwébyóbulambuzi mu Bwakabaka zaatongozebwa, Namutaayiika w’ebibalo, Okugaba omusaayi, okukola essenvuzo ku kizimbe Bulange nébirala.
Ssemasonga eyokutaano ekwata ku kutumbula Obumu ,alipoota eraze nti ebyemizannyo bikoze kinene okugatta abantu ba Kabaka, waliwo ebisaawe byemizannyo ebitandikiddwawo, okukulaakulana olubiri lwa Beene ,n’ensonga endala nyingi.
Bwabadde aggulawo Olusirika lwabakulembeze mu Bwakabaka mu Butikkiro e Mengo, katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga agambye Obwakabaka Kati butunuulidde ebintu ebinene, nga mwebugenda okuyita okutuuka ku Ntikko.
Ssentebe w’Enteekateeka Namutayiika era nga ye mumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Dr. Prof. Hajji Twaha Kawaase Kigongo, yeebazizza abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu Bwakabaka bwa Buganda, era naabasaba okukuuma endagaano eyakolebwa ey’Obuweereza obusukkulumu eri Namulondo.
Mu lusirika luno mwetabiddwaamu ba minister ba Beene, ba Jjajja Abataka abóbusolya, abakulembeddwamu omukubiriza w’Olukiiko lwabwe omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, abaami b’Amasaza bonna, ba ssenkulu b’ebitongole mu Bwakabaka omuli CBS, BBS Terefayina,Buganda Land Board, Kabaka Foundation n’ebirala.
Mu ngeri yeemu abakulembeze bakubaganyizza ebirowoozo ku bintu ebirina okussibwako essira ku Namutaayiika addako.
Bisakiddwa: Kato Denis