Obukadde bwa shilling za Uganda 50,970,000/= bwebusondeddwa bannakyaggwe mu nkola ya Luwalo Lwange.
Ssaabawaali Bubiito Buikwe,Ssaabagabo Ngogwe,Mutuba IV Kawuga ne Mutuba IX Goma, kwosa n’olukiiko lweby’enkulakulana mu ssaza Kyaggwe.
Oluwalo luno lutikkuddwa Omumyuuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika w’Obwakabaka past District Govnor Owek Robert Waggwa Nsibirwa, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Owek.Waggwa asabye abaweereza mu Bwakabaka bwonna okwewala Obukumpanya era baweereze abantu ba Kabaka mu bwesimbu.
”Twongere okuswala nti Kabaka anaawulira atya nti omwami we akumpanyizza ebintu by’abantu”
Owek.Waggwa era atongozza akatabo akayitibwa “Bannaggwano e Kyaggwe n’Omusezi Kawuulu” akawandiikiddwa Drake Semwogerere Ssekeba n’akubiriza abantu okukasoma bamanye ebirungi ebikalimu.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaggwe Ssekiboobo Elijah Boogere, agambye wakati mu kuweereza Obwakabaka bakyasomoozeddwa ababbi b’ettaka, abatuuze saako abatuuze abagala okukumpanya ettaka ly’embuga y’Essaza.
Omubaka wa parliament Buikwe South Michael Lulume Bayiga, agambye nti abantu be Kyaggwe bakyasomoozebwa ekibba ttaka okutudde ebibira,abantu bongedde okulyesenzaako, emiti bagitemye.
Agambye kino kyekigenda okussa bbannakyaggwe enjala n’Obwavu obugenda okuva ku kyeya, enkuba kati yabbalirirwe.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen
Ebifaananyi: MK Musa