Abantu ba Ssaabasajja Kabaka bakuηηaanidde ku muzikiti e Kibuli, okujjukira bwejiweze emyaka 32 bukyanga attikkirwa e Naggalabi Buddo. Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obuzanyiddwa ku katambi n'okulagibwa ku ntimbe za TV....
"Ebika y'Entabiro egatta Buganda" Ku Mikolo gy’okutikkira Omulangira Ronald Mutebi nga 31 July, 1993 e Naggalabi Buddo mu Ssaza Busiro, Ebika by'abaganda ebyenjawulo byamukolako emikolo gy'ennono,naafuuka Ronald Muwenda Mutebi II...
Ng'emu ku nteekateeka y'okukuza amatikkirwa ga Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II,agagenda okukuza ku muzikiti e Kibuli nga 31 July,2025, Minister w'amawulire , okukunga abantu era omwogezi w'Obwakavaka owek,...
Abavubuka mu Buganda naddala abayizi b'amasomero bajjumbidde ekyoto ekitegekeddwa ku mbuga y'essaza Kyadondo e Kasangati, ng'emu ku nteekateeka y'okukuza amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aga 32....
Mu kwetegekera okujjukira emyaka 32 egy'amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, wategekeddwawo okusaba okwenjawulo mu masiinzizo g'abagoberezi ba Kristu okwetoloola Buganda, okwebaza Katonda olw’Ebirungi byawadde Empologoma ya...
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Olukiiko lw’Embuga ya Kisekwa olukulirwa Omuk. Dr. Ssonko Robert Kanaakuloopa-Kisekwa. Kamalabyonna agambye nti olukiiko luno alulinamu essuubi ddene okugonjoola enkaayana zonna ez’ebika ezitwalibwayo, mu bwangu...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abalimi nÁbalunzi mu Bwakabaka okuwabulangana nÓkuwaηana Amagezi ku nnima ezza amagoba, bonna bagaggawalire mu Mwaanyi. Katikkiro abyoogeredde mu Ssaza Kyaggwe bwabadde alambula abalimi...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab'enju y'omugenzi era abadde munywanyiwe, Omulamuzi Prof. George Wilson Kanyeihamba. Obubaka bwa Ssaabasajja bwetikiddwa Omulangira Rev Daniel Kajumba, era ng'abukwasizza mulekwa...