Captain wa ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’ebikonde eya The Bombers, Joshua Tukamuhebwa, ayongedde okulaga eryaanyi bweyesozze omutendera gwa semifinal mu mpaka ez’okusunsulamu abazannyi abanaakiika mu mpaka za Olympics ezinabeera mu kibuga Paris ekya France mu 2027.
Empaka ez’okusunsulamu ziyindira mu kibuga Dakar ekya Senegal.
Joshua Tukamuhebwa okutuuka ku semifinal akubye munnansi wa Tunisia Dridi Mehdi ku quarterfinal, round zonna 5 aziwangudde.
Tukamuhebwa agenda kuddamu okuzannya ne Collin Richarno munnansi wa Mauritius ku semifinal.
Joshua Tukamuhebwa yetaaga kuwangula enwana 2 okuva kati yesozze empaka za Olympics ezakamalirizo.
Bannayuganda abalala ababadde basigadde mu lwokaano okuli Shafiq Mawanda ne Isaac Zebra Ssenyange bakubiddwa era ne bawanduka mu mpaka zino.
Uganda mu mpaka zino yakiikirirwa abazannyi 6, nga abalala bawanduka dda okuli Grace Nankinga, Shadir Musa Bwogi, ne Jonathan Kyobe.
Mu mpaka za Olympics ezasembyeyo ezaali e Tokyo Japan mu 2020, Uganda yakiikirirwa abakubi b’ebikonde 3 okuli David Ssemujju, Shadir Musa Bwogi ne Cathrine Nanziri.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe