Cape Verde lyéggwanga erisoose okukakasa nti ligenda kubbula ekisaawe kyayo ekya Estadio de National Cape Verde Stadium, kibbulwemu erinnya lyeyali nakinku mu kucanga endiba munsi yonna Edson Arantes Do Nascimento abangi gwe bamanyinga Pele, eyavudde mu bulamu bw’ensi eno.
President w’omupiira munsi yonna Gianni Infantino, yasaba amawanga gonna agakolagana nékibiina kya FIFA, buli limu okufunayo ekisaawe kkyebabbula mu linnya lya Pele.
Kakaano minister w’ebyemizannyo mu Cape Verde, Collea Da Silva, akakasiza nti ekisaawe kyabwe ekya Estadio National Cape Verde Stadium, kigenda kubbulwamu erinnya lya Pele, engeri Cape Verde ne Brazil era gyebalina bye bafanaganya ntoko omuli olulimi n’obuwangwa obutonotono.
Pele yafa ku lw’okuna lwa wikkiewedde ku myaka 82, naziikibwa mu kibuga Santos ekya Brazil ku lw’okubiri lwa wiiki eno.
Pele ayogerwako ng’omuzannyi akyasinze okucanga ensiba munsi yonna olw’ebyo bye yakola ebitanakolebwa balala, omuli okuwangula ekikopo kya World Cup ku myaka emito ddala 17 ate n’okuwangula ekikopo kino emirundi 3 n’ebiralala bingi.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe