Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kirangiridde munnansi wa Nigeria omuteebi Victor Osimhen, nga omuzannyi wa Africa asinze okucanga endiba omwaka guno 2023.
Omukolo gw’okutikkira abawanguzi engule gubadde mu kibuga Marrakech ekya Morocco.
Victor Osimhen okutuuka ku buwanguzi buno, yayambako club ya Napoli egucangira mu liigi ya babinywera eya Italy okuwangula ekikopo kya liigi oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 33.
Mungeri yeemu Victor Osimhen ye muzannyi eyasinga okuteeba goolo ennyingi mu liigi ya Italy zaali 26, ate nalondedwa nga omuzannyi eyasinga okucanga endiba mu Italy season ewedde.
Victor Osimhen okutuuka ku buwanguzi buno amezze banne okubadde Sadio Mane munnansi wa Senegal eyawangula engule eno omwaka oguwedde 2022, Riyad Mahrez munnansi wa Algeria, Frank Zambo Anguissa munnansi wa Cameroon, Vincent Aboubacar munnansi wa Cameroon, Mohammed Salah munnansi wa Misiri ne Achraf Hakim munnansi wa Morocco, Sofyan Amrabat munnansi wa Morocco, Yassin Bounou owa Morocco ne Youssef En Nesyri owa Morocco.
Nigeria bwetyo ewangudde eno oluvanyuma lya myaka 24 lwe kyasemba okukolebwa Nwankwo Kanu mu 1999.
Victor Osimhen era yafuuse munnansi wa Nigeria asoose okumalira mu bifo 10 ebisooka kungule y’ensi yonna eya Ballon D’Or season ewedde.
Mungeri yeemu munnansi wa Nigeria omukazi Asisat Ashoala ye makazi asinze okucanga endiba omwaka guno,
Morocco ye ttiimu y’omwaka esinze mu basajja olw’okukola ekyafaayo ng’eggwanga lya Africa eryasooka okutuuka ku semifinal za World Cup ezaali e Qatar, emezze Gambia, Equatorial Guinea, Mauritania ne Senegal.
Tiimu ya Nigeria ye ttiimu y’abakazi esinze.
Al Ahly eya Misiri ye club y’omwaka esinze mu basajja, ate mu bakazi club ya Mamerodi Sundowns eya South Africa yewangudde.
Walid Regragui owa Morocco ye mutendesi w’omwaka olw’okuyamba Morocco okutuuka ku semifinal za World Cup.
President wa CAF, Dr Patrice Motsepe yakwasiza omuwanguzi Victor Osimhen engule eno.
Abawanguzi ku ngule zino babalondedde kw’ebyo byebakoze okuva mu November 2022 okutuuka mu September 2023.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe