Kyadaaki ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya Confederation of Africa Football CAF kikkiriza FUFA okuddamu okukozesa ekisaawe kye Namboole ekya Mandera National Stadium okukyalizaamu emipiira egiri ku mutendera gw’ensi yonna.
Uganda Cranes nayo kati emipiira gyayo egy’omwezi ogujja ogwa June 2024, ng’ettunka ne Botswana ne Algeria mu mpaka za World Cup qualifiers egenda kugikyaliza Namboole.
Uganda Crabes ebadde amaze emyaka egisoba mu 3 ng’emipiira gyayo egikyaliza mu mawanga malala, olwa Uganda okuba nga tebadde na bisaawe birala bituukana na mutindo gw’ensi yonna.
CAF okukkiriza ekisaawe kino okuddamu okukozesebwa, wasooseewo emipiira 2 egya Uganda Premier League egyazanyiddwa mu kisaawe kino okukaksa omutindo gwakyo.
Ekisaawe kye Namboole kibadde kyayimirizibwa okuzanyirwamu emipiira mu mwaka gwa 2020 olwo government n’etandika okuddabiriza ekisaawe kino, nga omulimu guno gwawebwa ensimbi obuwumbi 97.
Emirimu egikoleddwa ku kisaawe kino kubaddeko okuzimba ekikomera ekipya, okusimba omuddo mu kisaawe kino okutukana n’omutindo, okutekamu obutebe, ebitaala n’ebirala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe