Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ennyonyi mu ggwanga ki Uganda Civil Aviation Authority kiragidde ebitongole byonna ebirina abakozi ku Kisaawe Entebbe, okuyimiriza abakozi babwe mbagirawo obutaddamu kukozesa ssimu mu saawa z’emirimu.
Uganda Civil Aviation Authority ,weyisiriza ekiragiro kino nga waliwo akatambi akasaasanidde ku mitimbagano nga kalaga omu ku bakozi ba kampuni emu kuziweereza ku kisaawe Entebbe, ng’ebyokuweereza abantu abivuddeko ali ku ssimu yasseereza akuba mboozi, ekyatabudde bannauganda.
Amyuka senkulu w’e kitongole Kya Uganda Civil Aviation Authority Olive Birungi Lumonya , asinde mulukungana lwa bannamawulire ku kisaawe Entebbe,nategeeza nti abakulu mu bitongole ebyakkirizibwa okukolera ku kisaawe bebagenda okubeera ne ssimu bokka okusobola okulondoola obulungi emirimu.
Olive Birungi agamba nti era basazewo ng’olukiiko olufuzi olutwala ekisaawe, nti abakozi mu bitongole byonna babeere namannya gabwe ku ngoye zebakoleramu, abantu babamanye.
Mu ngeri yeemu waliwo nómukozi agambibwa okwenyigira mu kulya enguzi akwatiddwa, era nga noono yakwatibwa ku katambi nekasaasanyizibwa ku mitimbagano.
Olive Birungi Lumonya agambye nti waliwo námannya gábakozi abalala agakwasiddwa Police ne ISO banoonyerezebweko ku bulyi bwénguzi.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru