Bino bituukiddewo mu kiseera nga bannansi bazze beekokkola abamu ku beeyita bannamateeka bebeesiga okubaggya mu buzibu omuli okubbibwako ettaka, kyokka nebabayita ku litalaba nebatabayamba kimala.
Bwabadde yeetabye ku bijaguzo kampuni ya bannamateeka eya Buwule and Mayiga Advocates kwekulizza emyaka 30 mu buweereza obwenjawulo mu by’amateeka ku Omono Hotel e Nakasero, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obuweereza obulungi bwebawadde bannansi businze kwesigamizibwa ku bukugu , Obwesigwa n’Obweerufu bweboolesezza mu nkola y’emirimu.
Buwule and Mayiga Advocates kampuni ya bannamateeka eyatandiika mu mwaka gwa 1994.
Owek Mayiga mungeri yeemu asabye banamateeka okuwaayo amagezi amatuufu ku betaaga obwenkanya mu mateeka, ate bewale okwagala okufuna eby’amangu byebatakoleredde.
Munnamateeka Buwule Francis bwebakola emirimu ne Katikkiro agambye nti omukwano n’Okwesigangana mu nzirukanya y’emirimu kibayambye nnyo okutuuka webatuuse.
Buwule ategezezza nti emyaka 30 nga baweereza banna Uganda mu kisaawe ky’amateeka balina esanyu nti bateendese baanamateeka abenjawulo wamu n’okuwoolereza banna Uganda okufuna obwenkanya.
Mu bijaguzo bino eby’emyaka 30 ba Buwule and Mayiga Advocates baddukiridde amaka g’abaana abaliko obulemu abatalina mwasirizi aga Missionaries of Charity agasangibwa e Namugongo, babawadde ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa buligyo.
Amaka gano galimu abaana abawala 37 na balenzi 19, ng’abamu ku bano bagyibwa ku kasasiro ,abalala babaleta ne babasula ku kikomera kyabwe n’abalala baalondebwa bulondebwa mu bifo ebyenjawulo.
Sister Joserick omu kubakulira amaka ga Missionaries of Charity agamba nti ebintu ebibawereddwa byakibayamba nnyo era nasaba abantu abenjawulo abalina obuyambi okubaddukirira.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Nakato Janefer