Abantu abasoba mu 50 basimattuse okufiira mu kabenje akagudde e Mukokoma mu district ye Lyantonde, bus ya kampuni ya Global No.UBA 293 F bwebadde ewugula emmotoka endala n’egwa neyefuula.
Kigambibwa nti akabenje kano kavude ku mugoba wa mmotoka ey’ekika kya Ipsum No.UBH 363 S ebadde eva Kagalagi, okuyingira obubi ekkubo owa bus bwagezezaako okugiwugula negyekoonako ekiddiridde kuwaba neegwa emipiira negitunula waggulu.
Bus ebadde eva Kampala ng’eyolekera Mbarara ku saawa nga ttaano n’ekitundu ez’ekiro.
Ambulance eyitiddwa neddusa abakoseddwa mu ddwaliro lye Lyantonde era nga waliwo abakutuse amagulu n’emikono.#