Bus ya Gate Way namba UAU 926/U ebadde eva e Kampala okudda e Kabaale ekutte omuliro n’ebengeya e Kampiringisa ku luguudo lw’emasaka mu District ye Mpigi. Abasaabaze bonna basimattuse naye ebyaabwe byonna bisanyeewo era Bus eno yonna eyonoonese.Omwoogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima akakasizza nti ali muntu n’omu alumiziddwa.