President wa Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni alangiridde nti Uganda esemberedde okulangirirwa mu lubu lwensi eziriko yadde yaddeko mu byenfuna,(middle income status), olw’ebyenfuna nennyingiza yabannansi eyeyongedde.
Okusinziira ku bank yensi yonna, eggwanga okulangirirwa mu lubu lwensi eziri yadde yaddeko mu byenfuna, middle income status, buli munnansi abeera wakiri omwaka ayingiza doola za America 1045 bwebukadde obusoba mu busatu kitundu eza Uganda, era omuwendo guno gulina okusigala nga tegusse wansi okumala ebbanga lyamyaka 3.
Mu kwogerwa kwa president Museven eri eggwanga( state of Nation address 2022) mu kisaawe e Kololo agambye nti NRM emisingi gyeyazimbibwako, kwaliko omusingi gwokuzimba ebyenfuna byeggwanga ebiggumivu, era werutuukidde olwaleero, ennyingiza yabannansi yeyongedde.
Agambye nti buli munnauganda kati ayingiza ddoola za America 1046 bwebukadde 3 nemitwalo 90 buli mwaka, okuva ku ddoola za America 1036 bwebukadde 3 nemitwaalo 80 zebaali bayingiza emyaka egiyise.
Wabula president Museveni asoose kussomera ababaka ba parliament ekyawandiikibwa mu bayibuli ekyomusajja omusiru nnampulira zzibi, eyagaana okuwulira naazimba ennyumba ye ku musenyi, enkuba bweyattonya neesaanaawo, n’omulala eyawuliriza ennyimba ye naagizimba ku lwazi newangaala.
Museveni asabye bannansi nababaka nti bawulirize ebigambo bye, baleme kufanaana ng’oli omusajja omusiru eyazimba ku musenyu, ennyumba ye enkuba negitwala.
Mu ngeri yeemu agambye nti ekibadde kikyakuumidde Uganda emabega, kwekutunda ebweru w’eggwanga ebirime n’ebintu ebirala nga tebyongeddwako mutindo.
Awadde eky’okulabirako nti ye takyayambala saati ziva bweru wa ggwanga, ayambala ezo zokka ezikolebwa mu ppamba alimibwa wano mu Uganda.