Olukiiko oluddukanya empaka z’amasaza ga Baganda ez’omupiira ogw’ebigere, lulangridde ttiimu y’essaza Bulemeezi ne Buluuli okuggulawo empaka za masaza ez’omwaka guno 2024.
Empaka zino ziggulwawo nga 22 June.m mu kisaawe kye Kasana Luweero.
Empaka z’omwaka guno zigenda kuggulwawo mu ssaza Bulemeezi, ng’essaza eryawangula empaka ezasembayo eza 2023 bwe yakuba Gomba goolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku.
Bulemeezi omwaka guno eri wansi w’omutendesi Paul Nkata ate Buluuli eri wansi w’omutendesi Anthony Bongole.
Bulemeezi ne Buluuli bali mu kibinja Bulange ne Buddu, Kyadodndo, Butambala ne Bugerere.
Ssentebe w’olukiiko okuddukanya empaka z’amasaza Sulaiman Ssejjengo, asabye abaddukanya ttiimu zombiriri okweteekateeka obulungi okuwa abantu ba Kabaka omupiira ogusingayo okuba omulungi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe