Club ya BUL FC egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League eyiseewo okwesogga oluzannya olwakamalirizo olw’empaka za Uganda Cup.
BUL FC ekubye club ya Booma goolo 1 – 0 e Jinja.
Goolo ewadde BUL obuwanguzi etebeddwa Karim Ndugwa mu dakiika eye 10, era BUL eyiseewo ku mugatte gwa goolo 6-1.
Oluzannya olwasooka yaluwangula goolo 5 – 0 e Masindi.
Kakaano BUL mu luzannya olwakamalirizo egenda kuttunka ne Vipers nga 12 omwezi ogujja ogwa June, mu kisaawe e Masindi.
BUL ne Vipers zigenda kuddamu okusisinkana omulundi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa ku luzannya luno, nga n’empaka ezasembayo mu 2021 Vipers yawangula BUL goolo 8-1 n’egitwalako ekikopo.