Obwakabaka bwa Buganda n’Obukama bwa Bunyoro Kitara bufulumizza ensonga 10, kwebugenda okwesigama okutumbula enkulaakulana eyannamaddala.
Ensonga esooka Obwakabaka bwakukolaganira wamu n’Obukama okutumbula eby’Obulambuzi, Okulima Emmwanyi, emmere n’Okulunda, Okukuuma ettaka ly’ennono , Okutumbula ennimi Oluganda n’Olunyoro mu masomero, nga ziyiyiizibwamu ennyimba ne Katemba.
Obwakabaka bwakukola emyoleso gy’Obuwangwa n’ennono, ebyemizannyo ku mitendera gy’ebika mu Bukama n’Obwakabaka gyakutumbulwa, songa Abaganda n’Abanyoro abali e mitala w’amayanja bakukunganira nga wamu bakubaganye ebirowoozo ku bibasomooza n’ebibakulaakulanya.
Buganda ne Bunyoro baakukolera wamu okutumbula emirimu gya bamusigansimbi eri Obwakabaka n’Obukama, n’Okuwagira abavubuka mu kisaawe ky’emisomo egy’ekikugu n’ekigendererwa ekyokumalawo ebbula ly’emirimu, songa wakubaawo enkolagana n’Obumu mu ntegeka y’emikolo egy’ennono.
Bwabadde asisinkanye Omuhiikirwa wa Bunyoro Andrew Birungi Byakutaaga Ateenyi mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obugulumbo obwaliwo wakati wa Buganda ne Bunyoro bwaleetebwa abafuzi b’amatwaale abajinga ebyafaayo nebaleetawo enjawukana mu bantu.
“Buganda bweyalwananga ne Bunyoro byalinga bya nfuna omwali okugaziya ensalo, okufuna amayinja mwebaaweesanga ebyuma,obwambe,obuso, amafumu, okufuna ente ez’olulyo, okuggyayo abakyala abato n’ebirala. Naye abafuzi b’amatwale bwebaggya kuno bagamba nti zaali ntalo z’amawanga okutubuzaabuza” – Katikkiro Mayiga.
Omuhiikirwa wa Bunyoro Kitara Andrew Birungi Byakutaaga Ateenyi agambye nti enkolagana wakati wa Buganda ne Bunyoro etuukiddwako buwanguzi bwennyini, naasaba Abanyoro okwetegekera enkyukakyuuka eyannamaddala.
Agambye nti ebitundu byombi Buganda ne Bunyoro balina ebintu bingi byebafaanaganya byebasaamye okukolera awamu okubikulaakulanya, n’okukulaakalanya abantu okulwanyisa obwavu n’enjala.
Omubiito we Bunyoro Omukulu Fred Mugenyi Rucuuya, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’enkolagana ennungi eriwo wakati wa Buganda ne Bunyoro.
Bisakiddwa: Kato Denis