Obwakabaka bwa Buganda buzizzaawo omuti gw’Omuwafu ogwébyafaayo, Ssekabaka Walugembe Muteesa I mweyatuula mu 1875 nómuzungu Henry Morton Stanley nawandiikira Nabakyala wa Bungereza okumuweereza abakugu bajje mu Buganda basomese abantube okusoma nókuwandiika, era nga eno yeeyali ensibuko yókusoma nókuwandiika mu Uganda.
Omuwafu guno gusangibwa mu Kyambogo University, wabula enkuba yagusuula mu February wa 2024.,
Omuwafu guno ogwali omunene okuzaama gwakuba akayumba akatono akaliranyewo naye nako tekalina kyámaanyi kyekaaba, mpozzi amabaati gaako okugoomaako akatono ekintu ekyaleka buli muntu ngáwuniikiridde, nebawanuuza nti omuti guno muzadde tegurumya baana baagwo.
Katikkiro yassaawo akakiiko akakulemberwa Omumyuka wa Vice Chancellor wa Ssettendekero wa Kyambogo Uiversity Prof Maria Goretti Nassali Musoke nekatikkibwa eddimu lyókuzaawo omuti guno, era nga kaaweebwa ebiragiro okuzzaawo omuwafu ogwékika kyógwo ogwágwa gwénnyini.
Wabula baasanga akaseera akazibu kubanga baagezaako okumerusa amatabi agava ku muwafu ogwo gwennyini emirundi esatu naye nga bayiwa nsaano kumazzi era esuubi neribaggwamu.
Oluvannyuma baasalawo okufuna endokwa okuva ku miwafu egiri ku Ssettendekero ono naye nebatya nti giyinza obutabeera gyákika kya muwafu ogwagwa, era akakiiko kaafundikira kasazeewo bagikoleko DNA naye ensimbi nezibalemesa ekintu ekyayongera okubamalamu essuubi.
Wabula bano essanyu lyábula okubatta bwe baali balambula ekifo ewaagwa omuwafu guno nebasangawo endokwa musaanvu, olwo abamu nebagamba nti Kabaka Muteesa atujjukidde ate abandi nti bajjajja bawulidde okusaba kwaffe.
Endokwa ezo baazitwala mu kifo ewalabirirwa emiti nezirabirirwa bulungi era nézikula bulungi.
Olunaku olwa leero nga 11 June,2025 baggyeyo emiti ebiri, ogumu negusimbibwa mu kifo kyennyini Omuwafu omukadde wegwali, ate omulala négutwalibwa mu Lubiri lwa Kabaka e Banda.
Bwabadde akulembeddemu okusimba emiti gino Minister wa Kabaka ow’obuwangwa nénono Owekitiibwa Anthony Wamala asabye abantu okukuuma ebyafaayo.
Amyuka Vice Chancellor wa Kyambogo University Prof. Maria Goretti Nassali Musoke yeeyamye okukuuma omuti guno.
Omumyuka asooka owa Kaggo agambye nti omuti guno gugenda kutumbula nnyo ebyóbulambuzi nébyobuwangwa mu ggwanga.
Omulangira Ssenfuma Timothy omu ku bali ku kakiiko akazizzaawo omuti guno agambye nti essanyu lyabula okubatta nga balabye ku ndokwa z’omuwafu ogwagwa, nagamba nti guliko ebyafaayo bingi ddala.
Omuti guno Omuwafu abayizi abasomedde mu Kyambogo Univeristy baagukazaako lya “OFFICE YA MUTEESA”.
Abalala bagamba nti omuti ogwagwa mu 2024 guteeberezebwa okuba nga gwali gusoba mu myaka 150 egy’obukulu, abayizi babadde bagulondako empafu eziwooma.
Abalala babadde bagutendako ekisiikirize ekinene mwebatuula nebawuulako ng’akawewo bwekabafuuwako.
Abalala babadde bagala nnyo okugusomeramu ebitabo naddala mu biseera by’ebibuuzo, nga bagamba nti ebyenjiriza bye balimu, omuti ogwo yeyali ensibuko yabyo.
Sso ng’abandi babadde batuulizaawo enkiiko zabwe okuteesa ku nsonga ez’enkizo, naddala abayizi ba Kyambogo University abegattira mu kibiina kya Baganda Nkobazambogo.
Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus