Obwakabaka bwa Buganda butongozza empaka z’emizannyo egy’amasomero mu Buganda eginaazannyibwa okuva nga 9 okutuuka nga 16 March, 2024.
Empaka zino zitongozeddwa Minister w’Abavubuka eby’Emizanyo n’Ebitone, Owek. Ssaalongo Robert Sserwanga mu Bulange e Mmengo.
Asabye abakulu b’amasomero okuwa abasomesa babwe omwaganya okukola byebalinamu obumanyi basobole okubisomesa abaana obulungi.
Enteekateeka eno eyanjuliddwa abakulu n’abatendesi b’ebyemizannyo mu masomero agenjawulo.
Emizannyo gino gyakuzanyibwa amasomero ga Primary ne Secondary.
Emizannyo eginaazannyibwa kuliko; omupiira gw’ebigere, Okubaka, Volleyball, Basketball, Wood ball ne Handball.
Ssentebe w’emizannyo gy’amasomero mu Buganda Omuk. Katamba Gerald asabye amasomero okufaayo okwewandiisa mu budde obutasukka 1 March,2024 basobole okukola enteekateeka ennungi.
Agambye nti omuzannyo ogunaweza amasomero 12 agagusabye okuguzannya, gwakugattibwa ku lukalala lw’emizannyo egirina okuzannyibwa mu mpaka zino.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen.