Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde omusawo omukugu mu kujjanjaba Emitima Dr Aggrey Kiyingi, eyafiira mu Australia.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’akiikiriddwa minister w’Olukiiko, Cabinet n’ensonga ez’enkizo mu wofiisi ya Katikkiro Owek Noah Kiyimba nga asinziira mu lutikko e Namirembe, atenderezza omugenzi Dr Kiyinji olw’okwaagala enkulaakulana y’eggwangalye n’abantu.
Agambye nti Omugenzi yali musaale mu kutumbula enkozesa ya computer ne tekinologiya ow’omulembe ng’ayita mu kampuni ye eya Deheezi International.
Katikkiro agambye nti Dr.Kiyingi yoomu ku bantu abewaayo okussa ettofaali mu kutandikawo Radio ya Buganda CBS FM.
Omubaka wa Ssaabasajja atwala essaza lye Sweden ne Scandinavia Owek Nelson Mugenyi, ayogedde ku mugenzi Kiyinji nga abadde omuntu owenjawulo, abadde alafuubanira Obumu n’ebyobulamu.
Agambye nti abadde afaayo okubaamumakuma yonna gyebali.
Namwandu Maimuna Nakayenga Kiyingi agambye nti omugenzi abadde mukozi ebitagambika, era nga ataasizza Obulamu bw’enkuyanja n’enkuyanja z’abantu.
Namwandu era annyonyodde nti wakati mu bibadde bisomooza omugenzi ate nga bibadde bisibuka munsiye ku butaka, abadde mukkakamu nnyo nga byona yabikwasa Katonda.
Agambye nti olumu yawaako omugenzi ku magezi yenyonyoleko ku bizze bimwogerwako, kwekumwanukula nti kitwala obudde bungi ng’ogezaako okulongoosa erinnyalyo, nti wabula kyabadde akkiririzaamu kwekuba nti Uganda ebadde n’obusobozi obubeera mu mbeera eyeyagaza, wabula alese takituukirizza.
Mwannyina womugenzi Dr Aggrey Kiyingi omukulu Recheal Nsasirwe akukulumidde bannamawulire abatatutte budde bumala okunoonyereza, olwo nebongera ebikyamu ku mugenzi ebibawebwa abantu abekkusa bokka.
Omulabirizi we Namirembe Kitaffe mu Katonda Wilberforce Kityo Luwalira, yebazizza Katonda olw’ebibala bya Dr Aggrey Kiyingi, naddala mu kisaawe ky’ebyobulamu ne tekinologiya.
Dr Aggrey Kiyingi afiiridde ku myaka 70, egu’obukulu wakuziikibwa ku kyaalo Sseeta mu gombolola ye Busukuma mu district ye Wakiso.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Tamale George William