Ebya tiimu y’essaza Buddu byongedde okuba ebibi mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, ekubiddwa Kyaggwe goolo 1-0 mu kisaawe e Mukono.
Omupiira guno gukendeezezza emikisa gya Buddu egy’okuva mu kibinja. Buddu esigazza omukisa gumu gwokka gwa kuwangula Buluuli mu kisaawe e Masaka bwebeera yakuva mu kibinja.
Buddu yakakubwa emipiira 3 mu kibinja ekibadde kirudde okubeerawo.
Buwekula yagikuba ewaka ne kubugenyi, Kyadondo yagikubira e Masaka ate ne Kyaggwe egikubye.
Emipiira emirala; Buwekula egudde maliri ne Buluuli goolo 1-1 e Mubende.
Butambala ekubye Ssingo goolo 1-0 e Nkookooma.
Kabula ekubye Ssese 2-1 e Lyantonde.
Gomba ekubye Busiro goolo 1-0 e Kabulasoke.
Kyadondo ekubye Kkooki goolo 4-0 e Lwanda.
Busujju egudde maliri ne Bulemeezi 1-1 e Maanyi.
Bugerere egudde maliri ne Buvuma goolo 1-1 e Ntenjeru.
Amasaza 4 gesozze oluzannya olwa quarterfinal okuli Ssingo, Mawokota, Gomba ne Buwekula.#