Abantu 5 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kagaba mu bukuya Town council mu district ye Kasanda, bodaboda 2 zitomereganye.
Bodaboda zombi zibaddeko abantu basatu basatu.
Bwezitomereganye nebawandagala, ababiri nebafiirawo mbulaga ,abasatu bafudde baddusibwa mu malwaliro, wabula amannya gabwe teganategerekeka.
Aberabiddeko nagabwe ng’akabenje kano kagwawo, bagambye nti okuvuga endiima n’okuvugisa ekimama, byandiba nga byebivuddeko akabenje.
Police ye Kasanda etandise okunonyereza ekituufu ekivuddeko akabenje.