Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kitikkidde Bobosi Byaruhanga ne Fauzia Najjemba nga omusajja n’omukazi abasinze okucanga endiba omwaka guno 2021 mu mpaka za Airtel FUFA Awards ezibadde ku Speke Resort e Munyonyo.
Fauzia Najjemba owa club ya Kampala Queens okutuuka ku buwanguzi amezze banne okubadde Daisy Nakaziro ne Fazila Ikwaput aba club ya Lady Doves.
Bobosi Byaruhanga owa club ya Vipers amezze Aziz Kayondo owa Vipers ne Eric Kambale owa Express FC mukwano gwabangi.
Omukubiriza wa parliament ya Uganda, Jacob Oulanya yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okutikkira abazannyi bano, era ono ababakwasiza ebisumuluzo bye mmotoka zikapyata buli omu n’ensimbi akakadde kamu buli omu.
Mu mitendera emirala, omutendesi asinze banne ye Wasswa Bbosa owa Express FC mukwano gwabangi,ate omutendesi asinze okutendeka mu mupiira gwa bakazi ye Fred Musiime owa club ya Lady Doves.
Mu muzannyo gwa beach soccer asinze ye Emmanuel Alex Wasswa owa club ya St Lawrence, ekibiina ekisinze okuddukanyizibwa obulungi kye kya Uganda Youth Football Association, asinze mu muzannyo gwa futsal ye Travis Mutyaba owa club ya synergy.
Fahad Bayo owa club ya Ashdod eya Israel yasinze mu bazannyira emitala wa mayanja, ekirabo kya presidential award kiweereddwa Mark Ssali, ttiimu esinze empisa ya Police FC eya Uganda Premier League, ttiimu esinze okukola obulungi ye ya Uganda Hippos eyabazannyi abatasussa myaka 20 eyatuuka ku luzannya olwakamalirizo olwa afcon U20 ezaali e Mauritania.
Ttiimu y’omwaka ey’abasajja erimu abazannyi Mathias Muwanga eyali owa Express FC mukwano gwabangi nga kati ali mu Onduparaka, Shafiq Kagimu owa URA, Ceaser Manzoki owa Vipers, Enock Walusimbi owa Express, Steven Mukwala owa URA, Murushid Jjuuko wa Express, Aziz Kayondo wa Vipers, Bobosi Byaruhanga owa Vipers, Ashiraf Mandela owa URA nabalala.