Munnakibiina kya NUP Anthony Agaba amanyiddwa nga Bobi Young asindikiddwa ku alimanda e Luzira, oluvannyuma lwa kkooti y’amagye e Makindye okumuggulako omusango ogwokwogerera eggye ly’egwanga erya UPDF amafukuule.
Agaba agguddwako omusango guno n’abajaasi 2 okuli; Cpl. Apolo Bigirwa ne Pte Stuart Nuwahereza wabula nebagwegaana nga bagamba babasibako matu ga mbuzi kubaliisa ngo.
Oludda oluwaabi lulumiriza abasatu bano, nti nga 20th omwezi guno ogwa January 2023, nga basinziirira mu bitundu bye Kazo, Mbarara ne Kampala baagenda boogerera amafukuule eggye lya UPDF nti lijjudde kawukuumi, ebigambo ebigambibwa nti tebabiyinaako mutwe namagulu.
Kkooti y’amagye bano ebasindise mu nkomyo okutuusa nga 13th omwezi ogujja ogwa February 2023.
Bobi Young yakwatibwa ebantu abataamanyibwa bibakwatako ennaku satu eziyise mu bitundu bye Maya, azzeemu kulabika leero mu kooti y’amagye n’asomebwa omusango
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam