Robert Kyagulanyi Ssentamu president wa NUP, amanyiddwa mu kisaawe ky’okuyimba nga Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya lwatumye “Nalumansi”.
Oluyimba luno alukoze n’omukubi w’ebivuga we Sir Dan Magic.
Oluyimba lulimu obubaka obulabula abakuusa era abakkiriza okutunda emyoyo gyabwe, nebatuula ku lujjuliro n’abalyake.
Bobi Wine abadde amaze ekiseera nga tafulumya luyimba lwonna, ng’ebiseera ebisinga abadde asinga kubimalira mu byabufuzi.#