Olukiiko olwokuntikko olufuga ekittavu ky’abakozi ki NSSF lulumirizza obukulembeze bwékitongole kinoobwaliko nga bukulirwa Richard Byarugaba ne Patrick Ayota nti lwakukuta ne minister w’ekikula ky’abantu Betty Amongi okuyisa ensimbi obuwumbi 6, minister zeyasaba nti okubaako emirimu gy’akola
Olukiiko olufuzi olwa NSSF lubuulidde akakiiko akekiseera akasibwawo parliament okunonyereza ku vvulugu ali mu kitongole kino, nti olukiiko luno ssi lwerwayisa ensimbi zino, wabula zaayisibwa Richard Byarugaba n’omumyuka we Patrick Ayota.
Kinnajjukirwa nti ensimbi zino obuwumbi 6 zezavaako okusika omuguwa mukitongole kino.
Dr Peter Kimbowa ssentebe wa Board ya NSSF abuulidde akakiiko nti ensimbi ezogerwako baawulirako mpulire, era SRichard Byarugaba ne munne Patrick Ayota nti bebalina okuzinyonyolako kubanga bebaakukuta ne minister okuziyisa.
Olukiiko luno lwogedde kaati nti minister Betty Among yakola nsobi okusaba ensimbi zino nezitayisibwa mu lukiiko lwa Board.
Olukiiko lwa Nssf era lwegaanyi ebyogerwa nti lweyongeza ensako okuva ku bukadde 7 okutuuka ku bukadde 20 buli omu buli mwezi, bagambye nti obukadde 7 bwebafuna buli omu, nebaggattirwako obujanjabi bwabwe n’abantu babwe.