Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr Steven Samuel Kazimba Mugalu alonze omulabirize we Mukono eyawummula Bishop William Ssebaggala, okugira ng’addukanya obulabirizi bw’e Luweero oluvanyuma lwa abadde omulabirizi we Luweero Bishop Eridad Nsubuga okuwummula.
Mu bbaluwa Dr Stephen Kazimba Mugalu eriko ennaku z’omwezi 14 july,2023, agambye nti oluvanyuma lw’okusaba n’okwebuuza, Bishop Ssebaggala aweereddwa obuvunanyizibwa bwonna okuddukanya obulabirizi bwe Luweero.
Okusinziira ku bbaluwa eno, Bishop William Ssebaggala wakutandika obuvunanyizibwa obumuweereddwa ku Tuesday nga 18.July,2023 okutuusa nga 18.March .2024, nga obuvunanyizibwa buno wakubukola okumala ebbanga lya myezi 8.
Saabalabirizi Kazimba era alagidde nti omulabirizi ow’ekiseera wakusasulwa ebitundu 75% ku musaala ogubadde gulina okuweebwa omulabirizi we Luweero omujjuvu.
Ssiwakuweebwa maka matongole wabula wakusasulwa ensimbi eziweza ebitundu 25% kwezo ezaalina okusasula ennyumba omulabirizi gy’asaanidde okusulamu.
Mu birala Ssaabalabirizi era alagidde nti omulabirizi ow’ekiseera alondeddwa waddembe okukozesa emmotoka y’omulabirizi ne dereeva ku mirimu emitongole egy’obulabirizi.
Ensako zonna ezibadde ziweebwa omulabirizi okugenda mu buweereza obwenjawulo, omulabirizi omulonde naye zaakumuwebwa mu bujjuvu.
Abadde omulabirizi wa Luweero yawaddeyo office ku Sunday nga 09 July,oluvannyuma lw’okuweza emyaka 65 egyokuwummula.
Omulabirizi eyali alondeddwa okudda mu bigere bye Godfrey Kasana yasazibwamu, oluvannyuma lw’abamu ku bakristaayo okwemulugunya nti yali tasaanidde, olukiiko lw’abalabirizi nerumusazaamu.#