Abadde akuuma obulabirizi bwe Luweero Rt. Rev. Bishop Williams Ssebagala asiibudde abakulisitaayo be Luweero gy’aweerezA okumala emyezi 8.
Ssaabalabirizi w’e kanisa ya Uganda Dr. Samuel Kazimba Mugalu yamulonda akuume entebe y’obulabirizi bwe Luweero okuva nga 18 July, 2023 okutuuka nga 18 March,2024.
Olukiiko lw’abalabirizi lwasazaamu Can.Godfrey Kasana eyali alondeddwa okusumba obulabirizi obwo, entebe n’esigala nga nkalu, oluvannyuma lw’abamu ku bakristaayo okuvaayo nebategeeza nti Rev.Kasana yali tatuukiridde kutuuzibwa ng’Omulabirizi.
Ssebagala bw’abadde asiibula yennyamidde olw’okweyawulayawulamu okweyolekedde mu bakulisitayo ebbanga ly’amazeeyo, wabula asinzidde mu kusaba kw’okubasiibula nasonyiwa bonna abakulembeddemu okutabulatabula obulabirizi.
Asabye abakulisitayo abakyali ku mulamwa okwenywereza ku Katonda basobole okuwangula byonna ebisomooza obulabirizi, ate n’obutasigala mabega mu by’enkulaakulana.
Asabye abakulisitayo okukolaganira awamu n’omulabirizi omuggya Ven. Rev. Con. Wilson Kisekka basole okutwaala obulabirizi mu maaso mu by’omwoyo nenkulakulana awatali kweyawulamu.
Omulabirizi omuggya asubirwa okutuuka mu bulabirizi bwe Luweero ku Wednesday 20 March,2024, nga yeteekerateekera okutuuzibwa mu butongole nga 24 March,2024 ku lutikko y’omutuvu Mako e Luweero.
Bisakiddwa: Conslata Ttaaka