Eyali Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Mbarara Emeritus Paul Bakyenga avudde mu bulamu bw’ensi ku myaka 79 egy’obukulu.
Afiiridde mu ddwaliro e Nsambya ku Tuesday 18 July,2023.
Yazaalibwa 30 June,1944.
Ssaabasumba Bakyenga yazaalibwa ku kyalo Bumbaire Igara mu district ye bushenyi.
Bazadde be nabo bagenzi: kitaawe Sipiriyaano Kamuza ne nnyina Maria Gakubayo.
Yatandika okusoma obusebinaaliyo mu 1961 mu kitabi Seminary, n’atikkirwa okufuuka Omusasorodooti mu 1971.
Yaweerezaako mu kigo kye Nyamitanga, n’asomesa mu simimaaliyo e Kitabi, era yaliko pastoral cordinator ku lutikko ye Nyamitanga.
Yatuuzibwa ng’omusumba w’essaza lye Mbarara nga 02 January,1990.
Omusumba Bakyenga yadda mu bigere by’omugenzi Bishop John Baptist Kakubi eyali awummudde emirimu gy’obusumba.
Essaza ly’eMbarara bweryasuumusibwa nerifuuka Archdiocese, Bishop Bakyenga yeyasooka okubeera Ssaabasumba walyo okuva mu 1999 okutuuka nga 25 April,2020 lweyawummula.
Essaza lye Mbarara litwala Mbarara,Kabale,Fortportal,Hoima ne Kasese.
Ssaabasumba Lambert Bainomugisha aliko yeyadda mu bigere bye, era y’abikidde abkristu.
#