
Bya Davis Ddungu
Omulabirizi Rt .Rev. John Wilson Nandaah atuuziddwa ng’omulabirizi w’e Mbale ow’omunaana mu lutuula olw’enjawulo olubadde ku lutikko ya St. Andrew’s Cathedral e Mbale, ng’adda mu bigere bya Rt. Rev. Patrick Gidudu abadde mu omulabirizi ow’omusanvu okuva mu mwaka gwa 2008.
Bw’abadde akulembeddemu emikolo gino Ssabalabirizi w’e kkanisa ya Uganda The most Rev. Dr. Samuel Kazimba Mugalu Mboowa, agambye nti ekkanisa eyita mu kusoomozebwa okwamaanyi olw’abantu okukulembeza eby’okweyagaliza, nga kyenyamiza nti abalabirizi abasinga abaliwo bongedde kuwummula, wabula nti abalindiridde okutuula mu ntebe zino bakulembeza nnyo ensonga ezabwe ng’abantu mu kifo ky’okusoosa ekkanisa.
Ssabalabirizi Kazimba Mugalu, agambye nti ekkanisa etunuulidde nnyo essira okuliteeka ku nkulakulana ey’olubeerera, era nga kuno kwekumu ku kusalawo olukiiko lw’abalabirizi lwekwakoze mu lutuula lw’abalabirizi olw’okwefumitiriza ku buweereza.
Ssabalabirizi era azeemu okuvumirira enkola ey’abakulisitaayo ey’okutwala ekkanisa mu mbuga z’amateeka g’eggwanga, kyagambye nti tekigenda kugonjoola nsonga kubanga ekkanisa erina amateeka gaayo agalambikiddwa ku buli nsonga.
Anokoddeyo ebikolwa ebyeyolekera mu bulabirizi bwe Kuumi, olwabawagizi ba Rev. Okunya eyali alondeddwa ku bulabirizi oluvannyuma naasulibwa ettale okweyisa mu ngeri etajja nsa , ssonga ne mu bulabirizi bwe Muhabura waliyo abaddukidde mu kooti ku nsonga ezeefananyirizako eziri e Kuumi.
Omulabirizi John Wilson Nandaah, agambye nti obuweereza bwe bwakutambulira ku nkola y’okutumbula enkulakulana, enjiri okukolera awamu, n’okutumbula enkola ya province ey’okukunganya ssente z’enkulakulana eya Kingdom Development Organ (KIDO).
Yeyamye okutumbula eby’enjigiriza, eby’obulamu, n’okukwasizaako gavumenti okuzzawo enkulakulana ye Mbale ngekibuga n’ekitundu kyonna kyatwala.
Bwabadde akulembeddemu okubuulira Rt Rev Samuel Gidudu, Omulabirizi wa North Mbale era nga y’abadde atendeka Omulabirizi omujja mu byobukulembeze, amukuutidde okuwereza ekkanisa awatali kusosola muntu yenna, okubeera omwegendereza eri bakulisitaayo abamuleetera ensonga, kyokka naamusaba okukozesa emikisa egimwolekedde okutumbula obulabirizi n’okulakulanya ekitundu ng’akozesa ettaka ekkanisa ly’erina.
Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, Rtd Maj Jessica Alupo, nga yaakiikiridde president Museveni ku mikolo gino, asanyukidde ekkanisa ku buvumu bweyolesa mu kukwasizaako eggwanga mu kuzimba amasomero, amalwaliro, okuwa abavubuka emirimu n’enteekateeka endala ez’enjawulo, era nawanjagira ekkanisa okwongera okukunga abantu okuwagira enteekateeka za gavumenti zonna ezireetebwa.
Bishop Nandaah yazaalibwa nga 30 January 1962, musajja musomesa, yafuna degree esooka mu by’dediini mu mwaka gwa 2002, musajja mufumbo eri omukyala Betty Wabule balina abaana 4.
Yalondebwa nga 27 omwezi ogwe 10 omwaka guno okufuuka Omulabirizi we Mbale, ku lutuula lw’abalabirizi olwali e Namugongo ku kiggwa kyabajulizi.