Omulabirizi w’e Namirembe anaatera okuwummula Wilberforce Kityo Luwalira, akyaliddeko ebitongole by’obwakabaka okuli CBS,BBS Telefayina, Buganda Land Board, ne Kyadondo Pewosa Sacco byonna biri ku kizimbe Masengere.
Yebazizza Radio yÓmutanda CBS olwómulimu omunene gwekoze mu kuweereza e Kanisa ya Uganda naddala mu myaka gye 14 gyámaze nga Omulabirizi w’e Namirembe.
Agyebazizza olwóbuweereza nókuyimirira obumu ne Kanisa mu buweereza bwonna.
Bishop Luwalira yebazizza CBS olwéntandikwa ennungi gye yamuwa ng’atandika okuweereza ng’Omulabirizi we Namirembe, naddala omulimu gwókuwagira enteekateeka ya Tegula Project.
“CBS njebaza akensusso olw’okuwewula omulimu gw’okukubiriza abantu okumaliriza omulimu gwa Tegula project, okuddaabiriza Ssanyu babies home, Buloba primary teachers college,emisinde gyetutegeka n’ebirala, nemukubiriza abantu nga temweganya era nga temunkooye. Nammwe kitugwanira okubeebaza”
Bishop Wilberforce Luwalira agambye nti omulembe guno ogw’empuliziganya ey’omutindo, gusobozesezza ebintu bingi okukolebwa amangu era mu kiseera ekimpi, nasaba abantu okugukozesa n’obwegendereza.
“Mu kiseera kino nga tunyiga bunyizi bupeesa n’ofuna obubaka Okuyigirizibwa, okujjukizibwa, n’okubuulirirwa, ng’okyalina kyokola okufunamu ensimbi webaze katonda era kikole n’obumalirivu”- Bishop Luwalira
Ssenkulu wa CBS, Omukungu Kawooya Mwebe, yebaziza Omulabirizi Kityo Luwalira olwénkolagana ennungi ne CBS era nti obuwereza bwe buwadde essuubi ddene mu nkulaakulana y’a bantu ba Ssabasajja Kabaka.
Ssenkulu wa CBS Micheal Kawooya Mwebe yebazizza omulabirizi olwókuyimirira ewamu ne CBS mu kiseera kye yaggibwa ku mpewo mu 2009 ate nókulwana okulaba ng’edda ku mpewo.
Omulabirizi Kityo Luwalira oluvanyuma lw’okulambula ebitongole, yeetabye mu kusaba okwawamu nábakozi okuva mu bitongole bya Buganda, okusaba kubadde mu luggya lwa Masengere
Omulabirizi Luwalira yatuuzibwa ku bulabirizi bwe Namirembe nga 31st May,2009.#