Omwepisikoopi w’e Kasana Luweero Rt. Rev. Bishop Lawrence Mukasa Lutwama, awadde Obusaseredooti omulundi gwe ogusookedde nga wakayita wiiki nga yakatuuzibwa ng’omwepisikoopi.
Mu mmisa gyakulembedde mu lutikko ya Our Lady of Fatima Queen of Peace e Kasana Luweero, Bishop Mukasa awadde Abadyankoni 5 Obusesredooti, n’abasebinaaliyo babiri Obudyankoni.
Bishop Mukasa abagole ababuuliridde okubeera abeetoowaze, okwagala Abakristu gyebanaaweerereza n’okugondera abakulu ababaatwala mu bigo gyebanaaweerezebwa.
Omusumba Mukasa yeebazizza abakulu mu ssaza abakoze omulimu gw’okugunjula Abasebinaaliyo bano n’abasanga nga bayidde bulungi olwo n’abagabanyiza ku mulimu gw’obusaseredooti.
Abataano abaweereddwa Obusaseredooti ekitali kyabulijjo, Obudyankoni babumazeemu emyezi mukaaga gyokka songa gwandibadde mwaka mulamba.
Bishop Lawrence Mukasa awabudde ab’oluganda lw’abagole nti bano kati bafunye family empya n’olwekyo babawewulire ku mirimu gy’amaka mwebava.
Abafunye Obusaseredooti ye; Rev Fr Mark Mugagga, Rev Fr Eria Kayonga, Rev Fr Anthony Kirumira, Rev Fr Denis Kakooza ne Rev Fr John Baptist Lakonyelo.
Ate abafunye Obudyankoni ye; Rev Dcn Lawrence Kawagga ne Rev Charles Mutyaba.
Balagaanyizza Omusumba obuwulize n’abalimuddirira.
Fr. Anthony Kirumira ku lw’abanne yeebazizza nnyo abazadde babwe olw’okubakuliza mu mpisa n’eddiini, okubaweerera n’okukkiriza okubawagira mu kuyitibwa kwabwe.
Agnes Kirabo Nantongo omubaka akiikirira abavimubuka ba Buganda mu Parliament, akuutidde abavubuka nti newankubadde basaanye okunyumirwa obuvubuka bwabwe, wabula tebasaanye kwerabira nti obuvubuka bwebalina okukozesa okwekulaakulanya.
Omukolo guno gwetabiddwako Abasaseredooti okuva mu masaza ag’enjawulo naddala agali mu ttundutundu lya Buganda, okuli ekkulu ery’e Kampala, Kiyinda Mityana, Lugazi ne Masaka.
Omukolo guno gwetabiddwako omubaka wa Katikamu North, Hon Denis Ssekabira, Lady Justice Flavia Nabakooza, CAO wa Luweero Asaba Innocent, abakungu bangi n’abaKristu abajjuzza Lutikko n’ebooga.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K