Omwepisikoopi w’essaza lya Eklezia Katulika ery’e Lugazi Bishop Christopher Kakooza alabudde abantu ku muvubuka Francis Xervier Luyinda, eyeerimbika okubeera Omusaaserdooti mu Eklezia Katulika.
Bishop Kakooza ategezezza nti balinze obubaka obutongole obunaava mu lukiiko lw’abepisikoopi obwongera okulambika ku nsonga eno.
Kitegeerekese nti Luyinda ono omwana enzaalwa ey’essaza Lugazi, yali museminaaliyo wabula omusumba n’atamuwa Busaaserdooti olw’ensonga ezimanyiddwa omwepisikoopi kennyini.
Kigambibwa nti Luyinda bweyammibwa Obusaaserdooti, yaddukira mu ggwanga lya Cameroon gyeyasanga eyeyita Omwepisikoopi n’amuwa obusaaserdooti obwekimpatiira!
Omusumba w’e Lugazi Bishop Chrisopher Kakooza, yawandiikidde olukiiko lw’abeepiskoopi Abakatuliki e Cameroon nga yebuuza ku bikwata ku agambibwa okuba Bishop eyawa Luyinda obusaseredooti.
Baamutegeezezza nti omusajja eyeeyita Bishop Omukatuliki, sii mwepisikoopi mu Eklezia Katulika, era emirimu gye tegirina kakwate ku klezia ye Cameroon.
Ssaabasumba w’essaa ekkulu ery’e Bamenda mu Cameroon, Ssaabasumba Andrew Nkeya yategeezezza Bishop Kakooza nti omukulu oyo, tamanyiddwa wabula nti mu Cameroon eyo, eriyo abeeyita abeepisikoopi mu Eklezia katulika wabula nga sibatuufu.
Bishop Kakooza abakristu balabuddwa ku musajja Xervier Luyinda ne ku mmisa z’abasomera nga yeerimbise mu ky’okubeera kabona mu Eklezia Katulika.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K