Omwepisikoopi w’essaza lya Kiyinda Mityana Rt. Rev Dr. Joseph Anthony Zziwa awaddeyo ente 120 ng’ayita mu nteekateeka ya Kiyinda Mityana Diocese Intergrated Cow Program, okudduukirira abakristu n’abeddiini endala abali mu Parish y’e Busunju beggye mu bwavu.
Minister wa government ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka era avunaanyizibwa ku bantu ba Buganda e bweru Owek. Joseph Kawuki, asinzidde ku mukilo guno ku lwa Katikkiro, neyeebaza obukulembeze bwa Eklezia olw’okuvangayo n’enteekateeka eziyamba abantu okuva mu bwavu.
Owek Kawuki agambye nti enteekateeka nga zino zisimbye mu buwuufu bwennyini Obwakabaka bwa Buganda mwebusimbye.
Owek. Kawuki asabye abaweereddwa ente zino okuzirabirira obulungi ate balime nga bagimusa ebirime byabwe n’obusa obuva mu nte.
Agambye nti obulimi n’obulunzi bwankizo nnyo mu kawefube w’okugoba obwavu, n’akubiriza abavubuka okubwettanira bafunemu emirimu.
Omukolo guno gwetabiddwako ne minister wa Buganda ow’obulimi, obulunzi n’obwegassi Owek.Amis Kakomo.#