Bazzukulu ba Kasujja abeddira Engeye bongedde okulaga eryanyi mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’okubaka bwe besozze oluzannya olwakamalirizo omulundi ogw’okubiri ogw’omuddiringanwa.
Engeye okutuuka ku final zino ekubye bazukulu ba Mugema abeddira Enkima obugoba 33-30 ku kisaawe kya Old Kampala SS.
Bazukuklu ba Mbaziira abeddira Ennyonyi Ennyange nabo besozze final bakubye bazzukulu ba Gabunga abeddira e Mamba obugoba 52-42.
Ku luzannya olwakamalirizo, Engeye abawangula empaka ezasembayo bagenda kuttunka ne Nnyonyi Ennyange nga 26 omwezi ogujja ogwa August.
Ebyo nga biri bityo, ebika 8 byesozze oluzannya lwa quarterfinal mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere oluvanyuma lw’emipiira egizannyiddwa egigaddewo omutendera gw’ebibinja ogwa ttiimu 16.
Ebika 8 ebiyiseewo kuliko, Engo, Omutima Omusagi, Engeye, Ensenene, Effumbe, Embogo, Omutima Omuyanja ne Ngoonge.
Emipiira egizannyiddwa , ku kisaawe kya Kawanda SS Envuma egudde maliri ne Nsenene 2-2 ate nga Effumbe ligudde maliri ne Engabi Ensamba goolo 1-1.
Ku kisaawe kya Buddo SS, Empindi ekubye Ekinyomo goolo 1-0 ate nga Embogo ekubye Ekkobe goolo 1-0.
Ku kisaawe kya Old Kampala SS, Olugave lukubye Engo goolo 2-1 ate nga Engoonge ekubye Omusu goolo 1-0.
Ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, Engeye ekubye Omutima Omusagi goolo 2-0.
Omupiira gw’e Nte ng’ettunka ne Omutima Omuyanja gugwereedde mu dakiika ya 14 oluvanyuma lwe Nte okusigaza abazannyi 6 ku kisaawe, era gugenze okuyimirizibwa nga Omutima Omuyanja gukulembedde Ente goolo 2-0.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe