Obwakabaka bwa Buganda buwadde ttiimu z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere emijoozi, mu kwetegekera oluzannya olw’okuddingana olw’ebibinja olutandise.
Ttiimu zonna 16 eziri ku mutendera guno, ziweereddwa emijoozi 25 buli ttiimu y’ekika.
Minister w’ebyemizannyo abavubuka n’okwewumuzamu mu Bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, y’akulembeddemu enteekateeka y’okukwasa ebika emijoozi, omukolo gubadde mu Bulange e Mengo.
Asuubizza nti Obwakabaka bugenda kwongera okukola ekisoboka okusitula omutindo gw’empaka z’ebika bya Baganda.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka z’ebika bya Baganda, Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, yebaziza Obwakabaka olw’emijoozi gino, era yebazizza Ssabasajja Kabaka olw’empaka z’ebika bya Baganda mu myaka gino 30 nga atudde ku Namulondo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe
Ebifaananyi: MK Musa