Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye okuggalawo empaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere n’okubaka ez’omulundi ogwa 49 ez’omwaka 2023.
Minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone mu bwakabaka, Owek Robert Sserwanga, agambye nti Omuteregga asiimye empaka zino aziggalirewo mu kisaawe kye Wankulukuku, era akunze abazadde okuleeta abaana babwe mu bungi okulaba ku Mutanda ate n’okuwagira ebika byabwe.
Katambala Al Hajji Magala Sulaiman ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino, agambye nti batandikiddewo enteekateeka ez’okuteekateeka omukolo ogunaggyayo ekitiibwa ky’Empologoma.
Empaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere ku mutendera gwa semifinal, Omutima Omusagi gugudde maliri ne Mbogo goolo 1-1 mu kisaawe e Wankulukuku.
Goolo ye Mbogo eteebeddwa Brian Kayanja ate ey’Omutima Omusagi etebeddwa Hood Mayanja.
Ttiimu zino zigenda kuddingana nga 16 August 2023mu kisaawe e Wankulukuku.
Ebyo nga biri bityo, ttiimu y’ekika kye Ngeye egobeddwa mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’omwaka guno 2023, olw’okuzannyisa omuzannyi Kirumira Reagan eyabuzabuza obuzaale bwe n’atuuka okuzannyira ekika kye Nkima mu 2018.
Kati Ensenene eyawaba omusango guno, ekomezeddwawo mu mpaka zino, era kati y’egenda okuzannya ne Ngoonge mu mupiira ogw’okubiri ogwa semifinal mu kisaawe e Wankulukuku kusaawa 10 ez’olweggulo.
Mu mpaka z’ebika ez’okubaka, Engeye erindiridde kuttunka ne Nnyonyi Enyange mu mupiira ogwakamalirizo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe