Empaka z’engabo y’omupiira gw’ebika bya Baganda ogw’ebigere n’okubaka ez’omwaka guno 2023, ziggukwawo 13 may,mu kisaawe e Wankulukuku.
Bazzukulu wa Mugema abeddira Enkima bagenda okuggulawo empaka nga battunka ne bazukulu ba Nsamba abeddira e Ngabi mu mupiira ogw’ebigere n’okubaka.
Minister w’amawulire, cabinet era omwogezi w’obwakabaka, Owek Noah Kiyimba, yayanjudde amawulire gano mu lukiiko lwa bannamawulire olutudde wano e Bulange e Mengo.
Akunze Obuganda bwonna okujja mu bungi mu kisaawe e Wankuluku kwolwo okubugiriza Omutanda bw’anaaba asiimye, n’okuwagira ebika byabwe.
Okuyingira mu kisaawe e Wankuluku kugenda kubeera ku shs omutwalo 10,000 ne 20,0000 ate abayizi enkumi 5000.
Owek. Noah Kiyimba wasinzidde nasaba abazadde okwongera amaanyi mu kwagazisa abaana bano ebika byabwe nga baiyita mu mizannyo gino.
Ssentebe w’emipiira gy’ebika Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, akinogaanyizza nti bakoze enteekateeka ey’omuggundu ddala ey’emipiira gino eggyayo ekitiibwa ky’Obwakabaka.
Bazukulu ba Luwomwa abeddira Endiga bebawangula empaka ezasembayo 2022,bwe bakuba bazukulu ba Ndugwa ab’Olugave goolo 1-0, ate Engeye n’ewangula mu kubaka yakuba Emmamba Gabunga obugoba 37-35.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 49 okuva lwe zatandika mu 1950, era Emamba Gabunga yekyasinze okuwangula engabo y’omupiira ogw’ebigere emirundi emingi 10.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe