Ttiimu y’ekika ky’Obutiko, Enjovu, Amazzi ge Kisasi ne Nnyonyi Nakinsige, zesozze omutendera oguddako ogw’okusunsulamu ogw’empaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere, oluvanyuma lw’okuyitawo ku mutendera ogusooka.
Ttiimu y’ekika ky’Obutiko ekubye Ensuma goolo 5-2 mu kisaawe e Wankulukuku.
Goolo z’Obutiko zitebeddwa Dennis Kasirye, Kagende Edrine, Nkonge Saziri, Zimula Jaliru ne Lumago Kawere ate nga goolo ze Nsuma zitebeddwa Kanaabi Innocent Mukalazi ne Kimuli Anthony.
Enjovu ekubye Enkula goolo 5-2 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Goolo z’e Njovu ziteebeddwa Kakembo Uthuman ateebyeko goolo 3, Ssozi Shaka ne Batte Sheif, ate eze Nkula zonna ziteebeddwa Muyomba James.
Ku kisaawe kya Kawanda SS omupiira ogwe Njobe ne Nnyonyi Nakinsige teguzannyiddwa oluvanyuma lwe Njobe obutalabikako.
Mu kisaawe kya Buddo SS omupiira wakati we Nkusu ne Amazzi ge Kisasi teguzannyiddwa olwe Nkusu obutalabikako.
Empaka zino ziddamu okuzannyibwa ku lwókusatu nga 31 May n’emipiira 5.
Entalaganya egenda kuttunka n’e Mbwa mu kisaawe kya Kawanda SS, Empeewo ne Nnyonyi Ennyange mu kisaawe e Wankulukuku, Envubu ne Nkejje mu kisaawe kya Buddo SS, Envuma ne Kibe mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu, ate Ennyonyi Endiisa yakuzannya ne Akayozi era mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe