Bazzukulu ba Kyadondo abeddira e Nvuma batandise nabuwanguzi mu mpaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2023, bwe bakubye bazzukulu ba Muyige abeddira e Kibe goolo 5 – 1.
Omupiira guzannyiddwa mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Goolo eziwadde e Nvuma obuwanguzi Lugoloobi Kinene ateebyeko goolo 2, Christopher Kawagu atebyeko goolo 2 ne Diriisa Kasirye atebyeko goolo 1, ate goolo ye Kibe eteebeddwa Mayanja Sadam.
Mungeri yeemu Ennyonyi Ennyange ekubye e Mpeewo goolo 2-1 mu kisaawe e Wankulukuku, ezitebeddwa Herbert Kazibwe ne Dan Kazibwe, ate goolo ye Mpeewo eteebeddwa Edward Kiryowa.
Ku kisaawe kya Kawanda SS Embwa ekubye e Ntalaganya goolo 2-0 eziteebeddwa Kisolo Paul ne Kisolo Willy.
Mu kisaawe kya Buddo SS, Enkejje ekubye Envubu goolo 5-4 ezibadde ez’okusimulagana peneti oluvanyuma lw’okulemagana goolo 2-2 mu dakiika 90.
Mungeri yeemu mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, Ennyonyi Endiisa ekubye Akayozi goolo 2-0 eziteebeddwa Nicholas Ssenyonga ne Arafat Mayanja nga zonna zibadde za peneti.
Ebika okuli okuli Ennyonyi Ennyange, Ennyonyi Endiisa, Ennyonyi Nakinsige, Enkejje, Embwa, Envuma, Amazzi ge Kisasi, Obutiko, Njovu n’Enkima ze ziyiseewo okugenda ku mutendera oguddako ogw’okubiri ogw’okusunsulamu, okufunako ttiimu 7 ezinegatta ku ttiimu 25 ezirindiridde okuzannya ku mutendera gwa ttiimu 32.
Ebika okuli Enkusu, Enjobe, Ensuma, Enkula, Ekibe, Empeewo, Entalaganya, Envubu ne Akayozi ziwanduse.
Omutendera oguddako emipiira gigenda kuzannyibwa nga 6 wiiki ejja, era Enjovu egenda kuzannya ne Nnyonyi Nakinsige, Obutiko ne Amazzi ge Kisasi, Embwa egenda kuzannya ne Ennyonyi Ennyange, Enkejje ne Nvuma ate Ennyonyi Endiisa yakuzannya ne Nkima.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe