Ebbugumu lyeyongedde mu kazannyo ka CBS FM akebyemizannyo aka bingwa wa mabigwa ak’omwaka guno 2023, akazannyo kano katuuse ku mutendeera gwa fayinolo ku ludda olw’abaana abato abavuganyiza mu bbingwa toto, wamu nekuluzannya lwa semifayinolo mu bbingwa wa mabbigwa eri abavuganya ku bwanamunigina ne bbingwa extra abavuganyiza mu bibinja.
Abaana abato 11 abavuganyizza mu bbingwa Toto batuuse ku fayinolo, ate era ng’empaka ezakamalirizo owa bbingwa toto, bbingwa extra ne bbingwa wa mabbigwa zonna zigenda kuba awo nga 5 August,2023 mu kisaawe kya St. Marys stadium e Kitende.
Okuyingira mu kisaawe kwa shs 5000.
Emizannyo mingi gigenda kuzannyibwa ku lunaku olwo olwakamalirizo k’empaka za bbingwa era nga abawanguzi bakubuukayo n’ebirabo ebyenjawulo.
Egimu ku mizannyo egigenda okubaAwo kuliko omupiira gw’e bigere, akatale k’e Kajjansi mwebagenda okukwataganira na be Kibuye.
CBS Fm yakukwatagana ne BBS abawulirirza ba CBS bakukwatagana n’abawagizi ba SC vipers, aba taxi ne Kajjansi bakukwatagana na b’Entebbe, akabulira CBS bakukwatagana nabakulira Vipers wamu ne staff ya st Mary’s senior secondary school Kitende.