Emirimu gisanyaladde ku kitebe kye Ggombolola ye Kasangaati, oluvanyuma lw’abantu abatanategerekeeka okumenya office za Engineer we Ggombolola eno nebayiwamu empitambi.
Abatuuze be Kasangaati beyiiye mu bungi ku kitebe kye Ggombolola okwerabira ku mawano gano.
Engineer wegombolola Eno Mawejje Hamuza adukiidde ku police ye Kasangaati okuggulawo omusango.
Town Clerk Harriet Nakyazze ne Eng Mawejje bakyagaanye okubaako byebannyonyola ku mbeera eno.
Bisakiddwa: Musisi John