Emirambo 21 gyejaakayiikuulwa e Kiteezi mu Kyadondo, ewaabumbulukuse entuumu ya Kasasiro n’abaziika.
E Kiteezi KCCA gyebadde eyiwa kasasiro yenna ava mu Kampala, abadde yetuuma ng’akirako olusozi.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango, agambye nti omulimu gukyaali gw’amaanyi ddala okuyiikuula kasasiro okuzuula oba nga wakyaliyo abantu abakyali abalamu, oba abaafudde.
Abantu ba bulijjo, aba Uganda Red Cross, n’amagye nga bakozesa emikono n’emmotoka zi wettiiye bawezezza ennaku bbiri nga bayiikuula kasasiro eyaziise ennyumba zvabantu.
Onyango ategeezezza nti waliwo emirambo egisangiddwa mu Kasasiro nga tegimanyiddwako bantu baabwe, songa abalala bazuuliddwa.
Bisakiddwa: Kato Denis