Kooti enkulu mu Kampala esingizissa omusango abantu 5, ogw’okuwamba n’okutemula omuwala Maria Naggirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa mu mwaka gwa 2019.
Abasingisiddwa emisango ye Kasolo Compriyam commonly known as Arsenal, Lubega Johnson amanyiddwa nga Manomano n’abavuzi ba bodaboda boda Hassan Kiseeka, Mpanga Sharif ne Kalyango Nasif.
Obujulizi obwaletebwa mu kooti bulaga nti bano abasingisiddwa egy’obutemu b’akabinja ka B-13 abaali bateega abakyala mu bitaala bye Nateete ne mu bitundu bya Mabiito nebabanyagako ensawo.
Mu nsala y’omulamuzi Isaac Muwata eraze nti obujulizi bwonna obwaleetebwa abajulizi 23 okuli n’abawaabi ba government okuli Jonathan Muwaganya ne Timothy Amerit bwakakasizza nti ettemu baalikola nga 29th August, 2019.
Baawamba Maria Naggirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa mu Nabisasiro Zone e Lungujja mu Kampala, nebabatwala nebabatemula, emirambo gyabwe nebajisuula mu kisaalu kye Nakitutuli mu district ye Mukono.
Omu ku bawawabirwa Isaac Ssenabulya amanyiddwa nga Kisunsu yatottolera kooti, engeri olukwe lwonna gyerwalukibwamu olw’okuwamba abantu bano n’okubatta.
Kisunsu yategeeza kooti nti olukwe lwali lwakubba mmotoka ya Nnaggirinya eyali ekyali empya ttuku Toyota Spacio bagikozese mu bubbi bwabwe obulala.
Kisunsu ye yasalirwa dda ekibonerezo kyakusibwa emyaka 40 mu kkomera e Luzira era yatandika dda ku kibonerezo kye.
Kisunsu era yeyali omujulizi ow’o 9 eyawa obujulizi ku 5 nabo abasingisiddwa omusango.
Omulamuzi era yesigamye ne ku bifaananyi bwa CCTV camera, n’ebyava mu alipoota y’abasawo abekebejja emirambo.
Kooti era yesigamye ne ku sitatimenti zebaasooka okukola ku police bwebaali baakakwatibwa.
Omulamuzi Muwata wabula yeggyeerezza Kateregga Sadat oluvanyuma lw’okubulwa obujulizi obumulumika mu musango guno, wadde nga yali mukwano gwa Kasolo Compriyam ye asingisiddwa ogw’obutemu.
Bisakiddwa: Betty Zziwa