Abantu bataano bebafiriddewo ate abalala 24 nebasigala nga banyiga biwundu mu kabanje akaguddewo mu bitundu bye Migyera ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu
Akabenje kabaddemu mmotoka ssatu okuli Bus nnamba UBB 538K eya Kampuni ya California Bus Company, endala kuliko emottoka namba UBK 688C ey’ekika kya Isuzu D Max ne UBC 209A a fuso Box Body.
Twinazimana Sam omwogezi wa Police mu bendo bendo lya Savannah ategezeza nti ebyakazuulibwawo biraga nti emottoka zino zitomeraganye bwezibadde ziva e Kampala okudda e Gulu, oluvanyuma lw’emu ku mmotoka okulemerera omugoba waayo n’eyingirira emottoka ebadde yafiiridde ku luguudo.
Twinazimana Sam ategezeza nti omu ku bafudde ategerekese nti ye Muwanga Alex Makanika abadde kanika Fuso eyafiiridde ku kkubo.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico