Abasirikale ba kampuni y’obwannanyini basatu, aba Tight security guard bagombeddwamu obwala, kigambibwa banyaze obukadde bwa shilling obusoba mu 23 ku muyindi gwebabadde bakuuma e Mbale.
Abakwate kuliko Otulo Emmanuel, Odira Francis Bob ne Traleti Pascal.
Kigambibwa nti abasatu bano baatadde Dharmesh Makwan ow’emyaka 59 ku mudumu gw’emmundu,omutuuze mu Mabasa Garden Mooni ward Mbale city nebamunyaga.
Omwogezi wa police mu Elgon region, Rogers Taitika agambye nti alipoota gyebalina eraze nti omusirikale omu yalumba Dharmesh mu nju namulagira amuwe sente zonna zeyalina ku mudumu gw’emmundu, ng’eno basirikale banne bwebefuula abakyakuuma ebweru.
Olw’okutya okungi Dharmesh yayingira ekisenge n’aggyayo obukadde bwa shs 23,430,000/- n’azimukwasa, neyegatta ku basirikale banne abaali basigadde ebweru nebabulawo.
Kigambibwa nti Dharmesh yakuba enduulu eyabagulizaako ab’ebyokwerinda nebabateega, baabakwata n’obukadde 13,430,000/- n’emmundu kika kya SR nga mulimu amasasi asatu.
Rogers Taitika agambye nti nga police bakyalina byebakyanoonyereza.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico