Abatandiisi b’amasomero ag’obwananyini abegattira mu kibiina Kya National Private Educational Institutions Association Uganda beweze okusimbira ekkuuli enteekateeka ya government ey’okugereka ebisale by’amasomero.
Bagamba nti enteekateeka eno tereeteddwa mu mutima mulungi nti kuba enyigiriza enkulakulana y’ebyenjigiriza mu ggwanga.
Ku nkomerero y’omwaka oguwedde, government ng’eyita mu ministry y’ebyenjigiriza, yategeeza nga bweriko ebbago oba entekateeka gyereeta ey’okulungamya ebisaale by’amasomero gonna mu ggwanga okutandiika n’omwaka guno, n’ekigendererwa eky’okuggyawo enkola ey’okunyigiriza abazadde
Mu ntekateeka eno Ministry y’ebyenjigiriza egamba nti amasomero ga Primary galina okusaba ssente eziri wakati w’emitwalo 650,000/= ne 690,000 ku bayizi abasula ewaka, ate abayizi b’ebisulo basassule ezitassuka mitwalo 960,000/=
Ate amasomero ga Secondary Ministry egamba nti gonna tegalina kusuussa akakadde kamu n’emitwalo 1,220,000/=
Wabula bananyini n’abatandiisi b’amasomero ag’obwananyini mu ggwanga ababadde mu lukungaana lw’abamawulire olubadde ku kitebe kyabwe e Namuwongo, nga bakulembeddwaamu Ssentebe w’ekibiina kyabwe Kirabira Asadu bagamba nti enkola eno Ministry y’ebyenjigiriza gyetembeeta tesaanidde era bagala eyimirizibwe bunnambiro.
Kirabira agamba nti amasomero g’obwannanyini gakozesa ensimbi nnyingi okuteeka omutindo ogwetaagisa ku masomero, nga n’olwekyo government tegasaanye kugalingiriza ku nsonga y’ebisale byebasaba.
Kirabira Asadu agambye nti bagala government enyonyole ekigendererwa kyayo eky’okuleeta entekateeka eno, ng’ate amasomero g’obwanannyini tegafuna buyambi bwonna kuva mu government.
Dr.Wako Muzinge Ssabawandiisi w’ekibiina kino National Private Educational Institutions Association Uganda agambye nti Ministry y’ebyenjigiriza erina okusooka n’ekola okunonyereza ku ntekateeka yaayo gyetembeeta, nga tebana kugitekesa mu nkola nti kubanga yandyongera okukosa ebyenjigiriza, n’okuviirako amasomero agamu okuggalawo.
Bisakiddwa: Mukasa Dodoviko