Bannyini masomero góbwannnayini agawerera ddala 758 bebaakawaayo okusaba kwabwe eri ministry y’ebyenjigiriza n’emizannyo, bagala gafuulibwe ga government.
Bannyini masomero ago bagamba nti tebakyalina busobozi bugaddukanya, olwomuggalo ogwaleetebwa covid19 n’ensonga endala.
Alipoota yakakiiko ka parliament akalondoola ebyenjigiriza n’emizannyo eyavudde mu kwetegereza embalirira yébyemizannyo nébyenjigiriza, eraga nti amasomero agagala okudda mu government kuliko aga primary 620 naga secondary 138.
Amasomero gano kuliko agaddukanyizibwa abantu kinoomu, ebibiina byobwannakyewa, saako abantu b’ebitundu mwegasangibwa nga gano gamanyiddwanga ‘community owned schools’.
Akakiiko ka parliament kano kakirambise nti government okweddiza amasomera agali ku mutendera gwa Primary, buli ssomero okulikwasizaako lyetaaga obukadde 110 omwaka.
Okutwaliza awamu ku masomero 620 aga primary, government kijja kujetaagisa obuwumbi bwa shs 22 mu mwaka gweby’ensimbi ogujja 2022/2023.
Amasomero ga ga secondary , buli limu government kijja kugyetaagisa obukadde bwa shs 400 omwaka. Omugatte amasomero gonna agaasaba 138 kijja kwetaagisa obuwumbi bwa shs 55 mu mwaka gwebyensimbi 2022/2023.
Wabula ensimbi zino eziwera obuwumbi 74 tezaatereddwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka gwebyensimbi 2022/2023, ekyoleka nti amasomero ago 758 goolekedde okuzi𝝶ama mu buweereza.
Mu ngeri yeemu kizuuliddwa nti n’ensimbi obuwumbi 16 ezokugula ebikozesebwa mu kusomesa curriculum empya emanyiddwanga lower secondary curriculum eyebibiina okuli Senior eyokusatu neyokuna, tezaatereddwa mu mbalirira.
Ensimbi zino zakukubisa nokwokesa ebitabo ebya curriculum empya, awamu nokubisaasaanya mu massomero gonna okwetoloola eggwanga.
Ebyenjigiriza mu mwaka gwebyensimbi ogujja 2022/2023 government yateeseteese kubisaasanyizaako trillion 3.768, so ngómwaka guno ogugwako 2021/2022 ebyenjigiriza byawebwa embalirira ya trillion 3.793. Yakusalikako obuwumbi 29.